Mukama nze nina ebibi
1. Mukama nze nina ebibi,
Naye ekisa kyo ekingi,
Ompise okujjanga gy’oli,
Ayi yesu, njija.
2. Yesu, Omwanagw’endiga,
Olw’ebibi byange wafa;
Musaayi gwongukkiriza,
Ayi yesu, njija.
3. “Ajja gyendi simugoba”,
Kigambokyonkikkiriza,
Kubaokulimba toyinza;
Ayi yesu, njija.
4. Okwagala okwokunene,
N’ekisa kyo kimbaludde;
Kyenjagala, kusenga ggwe;
Ayi yesu, njija.