Ngamukulu

 


Ayi mukama wange nga bwe ndowooza,
Ku bye Watonda n’omukono Gwo;
Ndaba emmunyeenye awamu n’okubwatuka,
Amaanyi Go galabika wonna.


Chorus
Ne mmuyimbira Katonda Wange;
Nga Mukulu, Nga Mukulu!
Nsinza Katonda Mu mwoyo Gwange,
Nga Mukulu, Nga Mukulu!


Bwe ndowooza Katonda Eyawaayo
Omwana we okutufiirira;
Nnemwa okwebaza nenyimba nti,
Nga Mukulu, Ye katonda Wange.


Kristo bw’Alikomawo okutwala,
Eyo ewuwe abantu be ffenna;
Tulisanyuka, ne tuyimba nti:
Nga Mukulu, Ye katonda Wange.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *