Yesu Ye Mukwano Gwange

 


Yesu ye Mukwano gwange
Ssanyu lyange lyonna
Lwazi lwange kiddukiro
Muye nze mwennekweka
Mu nnaku era ne mu ssanyu
Yye ge manyi gange gonna
Yesu yemukwano gwange
Yankuuma.


Yesu ye Mukwano gwange
Mu bigezo byonna
Ngenda naye, nansaasirs
Era ampa obuwanguzi
Makungula ge malungi
Mu musana ne mu nkuba
Yesu kye kyengera kyange
Yankuuma.


Yesu ye Mukwano gwange
Nnamwesiganga era
Siyinzenga kumwegaana
Mu byonna byenteesa
Nnaagendanga eyo gyantwala
Emisana era n’ekiro
Nnaagendanga Ye gyantwala
YAnkuuma.


Yesu ye Mukwano gwange
Neetaaga ye Yekka
Namwesiga, Ndimwesiga
Byonna nga biweddewo
Bulamu bwange ne Yesu
Bwe Bulamu Obutagwawo
Mirembe Egitagwawo
Yankuuma.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *