Nnina Omukwano Gwange(James Grindlay Small)

 


1. Nnina omukwano gwange,
Ye Yasooka okwagala nze
N’ampalula mu kisa kye,
Kye kyakkirizisa nze.
Leero ndi muddu we,
Naye Abaddu be ba ddembe;
Nze ndi wuwe, Naye wange.
‘Mirembe n’emirembe.


2. Nnina omukwano gwange,
Ye Yafa okundokola nze,
Kubanga obulamu bwe
Ye bwe yagabira nze.
Nze silina obugaga
Ebyange bibye byonna;
Neewaayo mu mikono gye,
Mukwano gwange ddala.


3. Nnina omukwano gwange, Ye
Yaweebwa amaanyi gonna;
Ge galintuusa ewuwe;
Sitya balabe bonna.
Eby’eggulu mbirengedde,
Bimyansa nnyo nga effeeza:
Kale nkole, nfube, nnwane!
Ye alintukuza.


4. Nnina omukwano gwange, Ye
Mulungi, ow’ekisa;
Angabira ku maanyi ge,
Annuggamya era andiisa.
Ebiriwo n’ebiribaa
Tebirinjawukanya;
Mirembe, egitaggwaawo
Yesu, Mukwano gwange.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *