Nnina Omukwano Gwange
1.Nnina omukwano gwange, ye yasooka okwagala nze,
Nampalula mu kisa kye, kye kyakkirizisa nze.
Leero ndi muddu we naye, abaddu be ba ddembe,
Nze ndi wuwe naye wange, Mirembe n’emirembe.
2.Nnina omukwano gwange, ye yafa okundokola nze,
Kubanga obulamu bwe, yye bweyangabira nze.
Nange sikyalina byange. Ebyange bibye byonna,
Neewaayo mu mikono gye, Mukwano gwange ddala.
3.Nnina omukwano gwange, Yye yaweebwa amanyi gonna,
Ge galintuusa ewuwe, sitya balabe bonna.
Eby’eggulu mbirengedde, bimyansa nnyo nga ffeeza,
Kale nkole nfube nnwane, yye alintendereza.
4.Nnina omukwano gwange, yye mulungi ow’ekisa,
Angabira ku maanyi ge, annungamya era andiisa.
Ebiriwo n’ebiribaawo, tebirinjawukanya,
Emirembe egitaliggwawo, Yesu mukwano gwange.