Nalyoka ne’nkusenga Ggwe
1. Nalyoka ne nkusenga ggwe,
Omulokozi Katonda,
Kyenvudde nsanyuka nnyini.
Ne njatula bwe nsanyuse.
Chorus
Nsanyuse, Nsanyuse;
Yesu yannazako ebibi.
Y’anjagaza by’ayagala;
Ansanyusa ennaku zoona;
Nsanyuse, Nsanyuse,
Yesu yanazaako ebibi.
2. Namusenga n’atangoba;
Nze ndi wuwe, Naye wange;
Yampita ne nditegeera
Eddoboozi lye nga lya Yesu.
3. Edda nasagasagana,
Kaakano nteredde ku ye:
Sikyamusenguka, alina
Mukama, y’alina byonna.
4. Nalayira nti ndi wuwo;
Nakyogeranga bulijjo;
Era mu ntuuko ez‘okufa,
Ndisanyuka okuba owuwo.