Mu kibuga kya Dawudi

 


1. Mu kibuga kya Dawudi, Mwalimu ekiraalo.
Omwazaalibwa omwana, Omwo ente mwezaali.
Omwana oyo ye Yesu, Nnyina ye Maliyamu.


2. Ye yakka mu nsi ku lwaffe, ye mukama wa byonna.
Yabeeranga n’abakopi, Mu kyalo ekinyoomebwa.
N’akwananga abanaku, N’asembezanga ababi.


3. Yesu mu buto bwe bwonna, yalinga muwombwwfu.
Yayagalanga nnyo nnyina, ne bakulu be bonna.
N’abaana bonna mu nsi, Bakolenga bwe batyo.


4. Edda tulirabagana, olw’okwagala okungi,
Kubanga omwana oyo, ye mukama wa byonna.
Alituusa abaana be, mu ggulu babe naye.


5. Tetukyamulaba nate, mu kiraalo eky’ente,
Tulimulaba mu ggulu, ng’atudde ne Katonda.
Naffe tulibeera eyo, nga tumutendereza.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *