Newunya Ekisa

 


Newuunya ekisa kya Yesu,
Ekyalokola nange!
Bwe nnali nga mbuze,v
Naye Yanzaawula
Nze omuzibe, ne ndaba.


Ekisa kyandeetera okutya
Ekisa ne kimponya;
Nga kya muwendo nnyo;
Nga kya kitalo nnyo;
Ekyanzikirizisa.


Mu bikemo ne mu mitego
Bye nnayitamu byonna,
Ekisa kye kyamponya,
Ne nfuna emirembe
Era kye kirintuuma.


Tulifugira wamu na ye
Ng’enjuba bw’eyaka ennyo,
Tulimuyimbira,
Tulitendereza
Katonda ow’ ekisa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *