Yesu Azuukidde Olwa Leero
1.Yesu azuukidde Olwaleero, Aleruya!
Leero naffe katuyimbe, Aleruya!
Yatufiirira edda, Aleruya!
Yatulokola mu kufa, Aleruya!
2.Yesu tumutendereza, Aleruya!
Ye Kabaka owomu ggulu, Aleruya!
Yattibw naaziikibwa, Aleruya!
Okununula ffe abantu, Aleruya!
3.Obulumi Bwa mukama, Aleruya!
Bwatuleetera obulamu, Aleruya!
Leero gyali mu ggulu, Aleruya!
Bayimbira nessanyu, Aleruya!