Bwe tutambulira awamu
1.Bwe tutambulira, awamu ne Yesu,
Mu musana ogw’Enjiri ye,
Tubeera mu kkubo, ery’ektiibwa kye,
Wamu n’abesigwa be bonna.
CHORUS
Mugondere, era omwesige,
Tewali kkubo ddala,
Erireet (a) essanyu.
2. Ebisiikirize, n’ebire biggwaawo,
Okutya n’okubuusabuusa;
Era n’amaziga, nago tegabaawo,
Eri abeesigwa be bonna.
3. Obubi n’ennaku, abitwetikkira,
Atuggyako n’obuyinike;
Ebituteganya, obikomerere,
Singa tukwesiga ggwe Yesu.
4. Tetunakakasa, kwagala na ssanyu,
Fenna bye tulibeera nabyo;
Okutuusa Yesu, lwe tulimulaba,
Wamu n’abeesigwa be bonna.
5. Tulibeera naye, tulituula naye,
Tulitambula wamu naye;
By’anatugambanga, tunaabikolanga,
Kino kyokka, tumwesige ye.