Ombulire ku kisa
1.Ombulire ku Ekisa Eky’omulokozi,
Yye nga yye bweyafanana, Bw’alina obulungi,
Yesu eyatununula, eyatufirira,
Nnali ngenda okubula Yesu nandokola.
Chorus:
Ombulire ku kisa, Ombulire ku kisa,
Ombulire ku kisa, eky’omulokozi.
2.Obulireko empola yye bw’alina ekisa,
Ekitakomezeka Yesu nga atwagala,
Yabonyabonyezebwa, laba okwagala kwe,
Ababi ne bawebwa obutuukirivu.
3.Ombulire ekitiibwa, ky’alibeera nakyo,
Bw’alikomawo ku nsu kwe yakomererwa,
Ye lijja n’ebire, ne bamalayika,
Abeesigwa be bonna nebayimba naye.