Twala Obulamu Bwange
Twala Obulamu Bwange
Obufugire ddala
Ebiro bye ndimala
Bibe bya kukusinza
Twala emikono gyange
Okukuweerezanga
Twala ebigere byange
Ntambulirenga mu ggwe
Twala eddoboozi lyange
Ntutendereze Yesu
Twala n’emimwa gyange
Gibuulirenga Enjiri
Twala ne bye ndowooza
Ndowoozenga by’osiima
Twala omutima gwange
Bulijjo ogukuumenga
Twala bye nnina byonna
Byonna bibyo si byange
Twala amagezi gange
Gakozese by’osiima
Twala okwagala kwange
Ntwala nzenna nga bwe ndi
Yesu ontwalire ddala
Emirembe n’enirembe