Mu Kiraalo Ky’ente Mu Nfaana Omungi
1.Mu kiraalo ky’ente, Mu nfaana Omungi,
Yazaalibwa omwo, Omwana Yesu,
Emmunyenye nga zaaka, Nga azazikiddwa,
Awatali kintu, Kya kwebakako.
2.Ente nga zingonga, Zimuzuukusa,
Yesu teyafaayo kubeera nazo,
Nkwetaaga ggwe Kristo, Nteekanga naawe,
Onkuume, obeerenga nange bulijjo.
3.Kristo beera nange, Ombeesebeese,
Nkusenge bulijjo, onjagalenga,
Nkuumanga, ndokola, olw’ekisa kyo,
Okutuusa olunaku, Lw’olidda nate.