Sanyu leero lunaku lwa kitiibwa

 


1. Sanyu leero lunaku lwa kitiibwa,
Omulokozi Yesu azze gye tuli.
Ensi zonna ziyimba zitenda,
Ye mukama oyo ow’olubeerera.
Mutukuvu, Tusinze Omulokozi,
Yesu Kristo ye Munuzi waffe.


Chorus
Sinza Yesu, Wulira oluyoogaano,
Bamalayika bayimba ennyimba ez’essanyu!
Bamalayika bayimba ennyimba ez’essanyu!


2. Okwagalana gwe mulamwa gwe yatuwa,
Era mu yye emirembe bulijjo.
Amaanyi g’okufa Yesu yagayinza,
Era mu yye ffe tuli bawanguzi.
Haleluuya! Tusinze Omulokozi,
Yesu Kristo ye Munuzi waffe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *