Katonda nsembeza
1.Katonda onsembeze kumpi Naawe,
Ne bwe ndikwatibwa Obuyinike.
Neeyongerenga era Okusemberera
Okusemberera Okumpi Naawe.
2.Obudde obw’obulamu Buwungeera:
So siraba n’omu Anambeera,
Nga nkwegayirira Olw’ekyo, sembera
Olw’ekyo, sembera Okumpi nange.
3.Kale okwolesebwa Kuve eri Ggwe;
Era awalinnyibwa Walabike.
Nga Bamalayika Bampenyezza okujja
Bampenyezza okujja Kumpi naawe
4.Kyenva nsanyukira Ekisa Kyo,
Kubanga Owulira Omuddu wo.
Katonda tondeka, Nga mbulubuutira
Nga mbulubuutira Wala naawe.
5.Edda ndiyingira Wa Kitange;
Nga nkomekkereza Ennendo zange
Ekirinsanyusa Yesu, kubeerera
Yesu, kubeerera Wamu Naawe.